23
Endagaano Eragaanibwa buggya
Awo kabaka n’ayita abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama ne bakabona, ne bannabbi, n’abantu bonna okuva ku wa wansi okutuukira ddala ku wa waggulu mu bitiibwa byabwe. N’asoma ebigambo eby’omu Kitabo eky’Endagaano ekyali kizuuliddwa mu yeekaalu ya Mukama, nga bonna bawulira. Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.
Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri*. N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu. N’aggya empagi ya Asera mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo. Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga. Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.
10 Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki. 11 Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki. 12 Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. 13 Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni. 14 N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu.
Amasabo n’Ebyoto Bimenyebwamenyebwa
15 Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera. 16 Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.
17 Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.” 18 N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya. 19 N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri. 20 Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
Okukuuma Embaga ey’Okuyitako
21 Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.” 22 Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako. 23 Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi. 24 Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama. 25 Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.
26 Kyokka Mukama n’atakendeeza ku busungu bwe obungi obwabuubuukira ku Yuda, olw’ebikolwa byonna ebya Manase ebyaleetera Mukama okusunguwala. 27 Awo Mukama n’ayogera nti, “Ndiggyawo Yuda mu maaso gange nga bwe nnaggyawo Isirayiri, era n’ekibuga Yerusaalemi kye nneeroboza, wamu ne yeekaalu eno gye nayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabanga omwo,’ siribisaako nate mwoyo.” 28 Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Yosiya, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
29 Awo mu biro ebyo, Falaawo Neko nga ye kabaka wa Misiri n’ayambuka okutabaala kabaka w’e Bwasuli ku Mugga Fulaati; kabaka Yosiya n’agenda okumubeera, naye Falaawo Neko olwamulengera ng’ajja, n’amuttira e Megiddo. 30 Abaddu ba Yosiya ne bateeka omulambo gwe mu gaali ne baguggya e Megiddo ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye. Awo abantu ab’omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe okuba kabaka.
Yekoyakaazi kabaka wa Yuda
31 Yekoyakaazi we yaliira obwakabaka yalina emyaka amakumi abiri mu esatu, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyezi esatu. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama nga bajjajjaabe bwe baakola. 33 Falaawo Neko n’amuggya ku bwakabaka n’amusibira mu masamba e Libula mu nsi y’e Kamasi obutaddayo kufuga mu Yerusaalemi, era n’asalira Yuda omusolo ogw’effeeza ttani ssatu ne bisatu byakuna ne zaabu kilo amakumi asatu mu nnya. 34 Awo Falaawo Neko n’afuula Eriyakimu mutabani wa Yosiya kabaka, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu. N’aggyayo Yekoyakaazi, n’amutwala e Misiri, era eyo gye yafiira. 35 Awo Yekoyakimu n’awangayo effeeza ne zaabu nga Falaawo Neko bwe yalagira. Era okusobola okutuukirizanga ekyo, Yekoyakimu yawoozanga abantu, n’abaggyangako effeeza ne zaabu nga buli muntu bwe yagerekebwa.
Yekoyakimu, Kabaka wa Yuda
36 Yekoyakimu we yafuukira kabaka yali awezezza emyaka amakumi abiri mu etaano, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka kkumi na gumu. Nnyina erinnya lye yali Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37 Naye n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe be bwe baakola.
* 23:4 Beseri kye kifo awasinzibwanga Mukama Katonda mu biro eby’edda (Lub 28:19). Ekifo ekyo bakabaka ba Isirayiri baasinzizangayo balubaale (1Bk 12:25-29) 23:6 Empagi ya Asera yali ezikirizibbwa Keezeekiya, kyokka Manase n’agizzaawo