16
Okuyamba Abantu ba Katonda
Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
Enteekateeka za Pawulo
Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
10 Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 11 Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
12 Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
Ebikomererayo
13 Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14 Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
15 Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16 muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 17 Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko* Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bandiba nga be baaleetera Pawulo ebbaluwa eyava mu Bakkolinso bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 18 Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.
 
19 Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.
Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
20 Era abooluganda bonna babalamusizza.
Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.
 
21 Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.
 
22 Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!
 
23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
 
24 Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.

*16:17 Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bandiba nga be baaleetera Pawulo ebbaluwa eyava mu Bakkolinso