Ebbaluwa ya
Peetero
Omutukuvu ey’Olubereberye
1
Okulamusa
Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya, Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako.
Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe.
Essuubi Eddamu
Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu. Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero. Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako. Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe.
10 Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. 11 Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira. 12 Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
Twayitibwa kuba Batukuvu
13 Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 14 Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 15 Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 16 Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
17 Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 18 Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 19 Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 20 Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe. 21 Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.
22 Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa. 23 Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. 24 Kubanga,
“Abantu bonna bali ng’omuddo,
n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.
Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
25 Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”
Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.