5
Abafirisuuti n’Essanduuko ya Mukama mu Asudodi ne Ekuloni
1 Awo Abafirisuuti bwe bawamba essanduuko ya Katonda, ne bagiggya Ebenezeri ne bagitwala mu Asudodi; 2 ne bagisitula ne bagiteeka mu ssabo lya Dagoni*Dagoni ye yali lubaale omukulu ow’Abafirisuuti (laba Bal 16. 23), okuliraana Dagoni. 3 Awo abantu ba Asudodi bwe baagolokoka enkeera, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama. Ne basitula Dagoni ne bamuzzaawo. 4 Era ne bwe baagolokoka enkeera ku lunaku olwaddirira, baasanga Dagoni agudde mu maaso g’essanduuko ya Mukama, ng’omutwe gwe n’emikono gye bikutuseeko nga bigudde mu mulyango, ng’ekiwuduwudu kye, kye kisigaddewo. 5 Bakabona ba Dagoni n’abo bonna abayingira mu ssabo lya Dagoni kyebava balema okulinnya ku mulyango gw’essabo lye, ne leero.
6 Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. 7 Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni.” 8 Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti, “Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?” Ne baddamu nti, “Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi.” Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.
9 Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama. 10 Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni.
Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, “Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe.” 11 Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, “Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe.” Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa. 12 Abo abataafa baalwala ebizimba, okukaaba mu kibuga ne kutuuka mu ggulu.