2
Okusaba
Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka. Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. 10 Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
11 Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese. 12 Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba n’obuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga. 13 Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa. 14 Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, n’agwa mu kibi. 15 Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.