Ekitabo Ekiyitibwa
Samwiri
Ekyokubiri
1
Dawudi Ategeezebwa Okufa kwa Sawulo
Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”
Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’
“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’
“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’
10 “Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”
11 Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12 Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 13 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 14 Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” 15 Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 16 Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani
17 Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18 n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,
19 “Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!
Ab’amaanyi nga bagudde!
 
20 “Temukyogeranga mu Gaasi,* Gaasi kyali kibuga ky’Abafirisuuti
temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni, Asukulooni kyali kibuga by’Abafirisuuti.
abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,
abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.
 
21 “Mmwe ensozi za Girubowa,
muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,
newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.
Kubanga eyo engabo Engabo zaakolebwanga mu maliba, ne gasiigibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Omuzigo gwe gwagikuumanga obutavunda, ate era ne guziyiza n’obusaale okuyitamu mu ngabo. Engabo ezoogerebwako wano zaali zisaabye omusaayi nga tezikyayinzika kukozesebwa mu ntalo. ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa
n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega
n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,
olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,
n’amasavu g’ab’amaanyi.
 
23 “Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,
ne mu kufa tebaayawukana.
Baali bangu okusinga empungu,
era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.
 
24 “Mmwe abawala ba Isirayiri,
mukaabire Sawulo,
eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,
eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.
 
25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,
kubanga wali mukwano gwange ddala.
Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,
nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.
 
27 “Ab’amaanyi nga bagudde,
n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

*1:20 Gaasi kyali kibuga ky’Abafirisuuti

1:20 Asukulooni kyali kibuga by’Abafirisuuti.

1:21 Engabo zaakolebwanga mu maliba, ne gasiigibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Omuzigo gwe gwagikuumanga obutavunda, ate era ne guziyiza n’obusaale okuyitamu mu ngabo. Engabo ezoogerebwako wano zaali zisaabye omusaayi nga tezikyayinzika kukozesebwa mu ntalo.