13
Amunoni ne Tamali
1 Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali*Tamali yali muwala wa Maaka, omumbejja w’e Gesuli (3:3). Amunoni yali mutabani wa Akinoamu. Akinoamu ye yali mukyala wa Dawudi omukulu, nga Amunoni ye mutabani wa Dawudi omukulu, nga y’ateekwa okusikira Dawudi ku ntebe ey’obwakabaka, naye Amunoni omu ku batabani ba Dawudi omulala n’ayagala okwebaka naye. 2 Amunoni n’atawaana nnyo mu nsonga eyo n’okulwala n’alwala, kubanga Tamali yali mbeerera†Abawala abaali tebannafumbirwa, baabeeranga mu nnyumba z’abakazi nga tebakyalira basajja, newaakubadde okukyalira bannyinaabwe., Amunoni n’akisanga nga kizibu okumufuna. 3 Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju. 4 N’abuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni n’amugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.” 5 Yonadabu n’amugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako n’amaaso, n’oluvannyuma andiise.’ ”
6 Awo Amunoni n’agenda n’agalamira ku kitanda kye ne yeefuula okuba omulwadde; kabaka bwe yagenda okumulaba n’okumusaasira, Amunoni n’amugamba nti, “Nkwegayiridde, kkiriza Tamali ajje anfumbire emigaati nga mulaba ku maaso, n’oluvannyuma andiise.”
7 Awo Dawudi n’atumya Tamali n’amugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.” 8 Tamali n’agenda ewa Amunoni n’amusanga ng’agalamidde ku kitanda kye. Tamali n’addira obuwunga n’abukanda, n’akola emigaati Amunoni ng’alaba, n’agifumba. 9 Tamali n’addira olukalango, n’aluggyako bye yafumbirako, Amunoni ng’alaba naye n’agaana okulya.
Awo Amunoni n’alagira abaddu be nti, “Buli muntu afulume.” Buli muntu n’afuluma, n’asigalamu ne Tamali. 10 Amunoni n’agamba Tamali nti, “Ndeetera emmere eno mu kisenge kyange, ondiise.” Awo Tamali n’addira emigaati gy’afumbye, n’agitwalira Amunoni mwannyina mu kisenge kye. 11 Naye bwe yagimusembereza okulya n’amukwata, n’amugamba nti, “Jjangu weebake nange, mwannyinaze.”
12 N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo. 13 Nsaasira, nnadda wa obuswavu? Ate ggwe, onoobeera ng’omu ku basajja abasirusiru mu Isirayiri. Nkwegayiridde yogera ne kabaka, tajja kukuziyiza nkufumbirwe.” 14 Naye n’agaana okumuwuliriza, n’amukwata olw’empaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.
15 Oluvannyuma Amunoni n’amukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, n’amulagira nti, “Golokoka ofulume.” 16 Tamali n’amuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa ky’onkoze.” Naye n’agaana okumuwuliriza. 17 N’ayita omuddu ey’amuweerezanga n’amugamba nti, “Omukazi oyo muggye mu maaso gange, omuggalire ebweru.” 18 Awo omuddu we n’afulumya Tamali ebweru, n’aggalawo oluggi. Yali ayambadde ekyambalo ekiwanvu nga ky’amabala mangi, kubanga eyo ye yabeeranga ennyambala ey’abambejja embeerera. 19 Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba. 20 Abusaalomu mwannyina n’amubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali n’abeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.
21 Kabaka Dawudi bwe yakiwulira, n’asunguwala nnyo. 22 Naye Abusaalomu n’atabaako kigambo ky’ayogera ne Amunoni, ekirungi oba ekibi, kyokka n’akyawa Amunoni kubanga yayonoonyesa Tamali mwannyina.
Abusaalomu Atta Amunoni
23 Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna. 24 Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.” 25 Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa. 26 Awo Abusaalomu n’amugamba nti, “Ggwe bw’oba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka n’amubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?” 27 Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28 Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.” 29 Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30 Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.” 31 Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.
32 Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina. 33 Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.” 34 Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi. 35 Awo Yonadabu n’agamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.” 36 Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.
37 Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku. 38 Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu. 39 Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
*13:1 Tamali yali muwala wa Maaka, omumbejja w’e Gesuli (3:3). Amunoni yali mutabani wa Akinoamu. Akinoamu ye yali mukyala wa Dawudi omukulu, nga Amunoni ye mutabani wa Dawudi omukulu, nga y’ateekwa okusikira Dawudi ku ntebe ey’obwakabaka
†13:2 Abawala abaali tebannafumbirwa, baabeeranga mu nnyumba z’abakazi nga tebakyalira basajja, newaakubadde okukyalira bannyinaabwe.