5
Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri
1 Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako.
2 “Isirayiri embeerera agudde
obutayimuka nate.
Bamwabulidde
era tewali amuyimusa.”
3 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo
kirisigazaawo kikumi bokka,
n’ekyo ekiweereza ekikumi,
kirizza kkumi bokka!”
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,
“Munnoonye kale munaabanga balamu.
5 Temunnoonyeza Beseri
so temulaga Girugaali
wadde okulaga e Beeruseba.
Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
era ne Beseri kiriggwaawo.”
6 Munoonye Mukama munaabanga balamu
aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7 Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
mutulugunya obutuukirivu.
8 Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
era afuula ekisiikirize okubeera enkya
era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
ne gafukirira ensi ng’enkuba,
Mukama lye linnya lye.
9 Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi
era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10 Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya
era munyooma n’abo aboogera amazima.
11 Olinnyirira omwavu,
n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.
Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,
temuligabeeramu;
era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,
temulinywa ku wayini waamu.
12 Ebibi byammwe mbimanyi,
nga bingi ate nga bisasamaza.
Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,
abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13 Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo
kubanga ennaku mbi.
14 Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
nga bulijjo bwe mumuyita.
15 Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi
era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.
Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa
abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.
16 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17 Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu
kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”
18 Zibasanze mmwe abasuubira
olunaku lwa Mukama.
Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?
Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19 Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma
n’asisinkana eddubu,
bw’aba ng’ayingira mu nnyumba
ne yeekwata ku kisenge,
ate n’abojjebwa omusota.
20 Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,
ng’ekizikiza ekikutte ennyo?
21 Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini
so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22 Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
siribikkiriza.
23 Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.
Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24 Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.
25 “Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26 Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,
amaanyi ga bakatonda bammwe,
n’emmunyeenye ya katonda wammwe,
bye mwekolera mmwe.
27 Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”
bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.