Ekitabo Ekiyitibwa
Danyeri
1
Okutendekebwa kwa Danyeri mu Babulooni
Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba Yerusaalemi. Mukama n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n’ebintu ebimu eby’omu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza n’abiggyamu n’abitwala e Babulooni n’abiteeka mu ggwanika ery’omu ssabo lya lubaale we.
Nebukadduneeza n’alagira Asupenaazi omukulu w’abalaawe be alonde mu Bayisirayiri ab’omu lulyo olulangira, ne mu bakungu, abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu by’amagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obw’okubayigirizanga amagezi g’Abakaludaaya, n’olulimi lwabwe. Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.
Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya. Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.
Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa. Mu biro ebyo Katonda n’akozesa Asupenaazi okulaga ekisa n’okusaasira eri Danyeri. 10 Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.” 11 Awo Danyeri n’agamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti, 12 “Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa n’amazzi ag’okunywa. 13 N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.” 14 N’akkiriziganya nabo ku nsonga eyo, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 15 Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka. 16 Awo omusigire n’alekayo okubawa emmere yaabwe ey’enjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, n’abawa enva endiirwa.
17 Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
18 Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza. 19 Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka. 20 Buli nsonga ey’amagezi n’ey’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo n’abafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.
21 Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.