11
Ekiragiro ky’Okwagalanga Mukama Katonda
Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna. Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi; era abataalaba ku byamagero bye yakola n’ebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’eri ensi ye yonna; ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero. Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino, era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba n’amaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu Mukama by’azze akola.
Ekiragiro ky’Okukwatanga Amateeka
Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani, bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. 11 Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. 12 Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.
13 Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, 14 kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. 15 Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta.
16 Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. 17 Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.
Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka
18 Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19 Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. 20 Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, 21 mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.
22 Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; 23 kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. 24 Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. 25 Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.
Omukisa n’Ekikolimo
26 Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. 27 Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; 28 ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi. 29 Mukama Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali. 30 Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali. 31 Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera, 32 mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, n’ebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.