15
Omwaka ogw’Okusonyiyirwangamu Amabanja
1 Ku buli nkomerero y’omwaka ogw’omusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga. 2 Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa. 3 Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule*Obutafaanana ng’Abayisirayiri, bannaggwanga baalimanga ettaka lyabwe omwaka ogwo; noolwekyo baasobolanga okusasula amabanja gaabwe., naye ebbanja muganda wo ly’akulinako onoolimusonyiwanga. 4 Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, 5 kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. 6 Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.
7 Bw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. 8 Omwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. 9 Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. 10 Muwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. 11 Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
Okuwa Eddembe Abaddu Abagule
12 Omusajja Omwebbulaniya oba omukazi Omwebbulaniya gw’onoobanga oguze okukuweerezanga, bw’anaamalangako emyaka omukaaga, mu mwaka ogw’omusanvu onoomuddizanga eddembe lye. 13 Era bw’onoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa. 14 Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo ey’empeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bw’anaabanga akuwadde omukisa. 15 Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi y’e Misiri, Mukama Katonda wo n’akununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.
16 Naye omuddu bw’anaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe n’abali mu maka go, era nga bw’abeera naawe aba bulungi; 17 kale nno, onoomulazanga awali oluggi, n’oddira olukato n’olufumitanga†Okuwumula okutu kaali nga kabonero ka buddu. mu kutu kwe okw’ebweru ne luyingira ne mu luggi; olwo anaabanga afuuse muweereza wo ennaku zonna ez’obulamu bwe bwonna. N’omuweereza wo omukazi naye onoomuyisanga bw’otyo.
18 Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.
Ebibereberye eby’Ebisolo Ebirundibwa
19 Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, n’endiga zo embereberye tozisalangako byoya. 20 Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe n’ab’omu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. 21 Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda wo. 22 Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu n’atali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza. 23 Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ng’ayiwa amazzi.