5
Falaawo Aziyiza Abayisirayiri Okuva mu Misiri
Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”
Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri okugenda? Mukama ssimumanyi, era sijja kubakkiriza kugenda.”
Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe;*Abamisiri baatwalanga ensolo ng’ente okuba ensolo ezawongebwa, era ekyo kye kyagendererwa mu kugenda olugendo okuva awaali Abamisiri, okuwaayo ssaddaaka (laba 8:22) aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.”
Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.” Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”
Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantuAbagabi b’emirimu baali Bamisiri, ate nga bannampala b’abantu Bayisirayiri. nti, “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.Amatoffaali gakazibwanga mu musana, essubi nga likozesebwa okwongera okugagumya. Mu biseera ebyamakungula, ebitundu ebya waggulu empeke kwe zibeera bye byatemebwanga, ebikolo ebya wansi ne birekebwa mu nnimiro. Ebikolo ebyo ebya wansi, ebyasigalanga mu nnimiro, Falaawo bye yabagamba bateme okubumba amatoffaali. Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”
Abakozesa Bongera ku Mirimu gy’Abayisirayiri
10 Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. 11 Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ” 12 Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi. 13 Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.” 14 Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”
15 Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti? 16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 17 Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18 Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”
19 Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” 20 Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde. 21 Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”
Katonda Asuubiza Okununula Abayisirayiri
22 Awo Musa n’akomawo awali Mukama, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma? 23 Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”

*5:3 Abamisiri baatwalanga ensolo ng’ente okuba ensolo ezawongebwa, era ekyo kye kyagendererwa mu kugenda olugendo okuva awaali Abamisiri, okuwaayo ssaddaaka (laba 8:22)

5:6 Abagabi b’emirimu baali Bamisiri, ate nga bannampala b’abantu Bayisirayiri.

5:7 Amatoffaali gakazibwanga mu musana, essubi nga likozesebwa okwongera okugagumya. Mu biseera ebyamakungula, ebitundu ebya waggulu empeke kwe zibeera bye byatemebwanga, ebikolo ebya wansi ne birekebwa mu nnimiro. Ebikolo ebyo ebya wansi, ebyasigalanga mu nnimiro, Falaawo bye yabagamba bateme okubumba amatoffaali.