20
Amateeka Ekkumi
Awo Katonda n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:
 
“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
 
“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 11 Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
13 Tottanga.
14 Toyendanga.
15 Tobbanga.
16 Towaayirizanga muntu munno.
17 Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
 
18 Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 19 ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”
20 Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”
Ebiragiro ku Byoto
21 Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali. 22 Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu. 23 Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.
24 “ ‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa. 25 Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange. 26 Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’ ”