31
Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,
“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,
nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;
ogwali omuwanvu ennyo,
nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
Amazzi gaaguliisanga,
n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,
n’emigga gyagyo
ne gigwetooloola wonna,
ne giweerezanga n’amatabi gaagyo
eri emiti gyonna egy’omu ttale.
Kyegwava gukula ne guwanvuwa
okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,
n’amatabi gaagwo amanene
ne geeyongera obunene,
n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa
ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,
n’amatabi gaagwo amanene,
kubanga emirandira gyagwo
gyasima awali amazzi amangi.
Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda
tegyayinza kuguvuganya,
newaakubadde emiberoosi okwenkana
n’amatabi gaagwo amanene;
n’emyalamooni nga tegifaanana
matabi gaagwo amatono,
so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda
ogugwenkana mu bulungi.
Nagulungiya n’amatabi amangi,
emiti gyonna egy’omu Adeni
egyali mu nnimiro ya Katonda
ne gigukwatirwa obuggya.
10 “ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 13 Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 14 Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.
18 “ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.
“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”