41
Awo omusajja n’antwala ebweru wa yeekaalu Awatukuvu n’apima empagi ez’awayingirirwa mu kifo ekitukuvu, obugazi mita ssatu buli luuyi. Awayingirirwa waali obugazi mita ttaano, n’obugazi bw’empagi ez’oku luuyi olw’omunda zaali mita bbiri n’ekitundu eruuyi n’eruuyi. N’apima ebweru wa yeekaalu Awatukuvu nga wali mita amakumi abiri obuwanvu, n’obugazi mita kkumi.
Oluvannyuma n’ayingira munda wa yeekaalu Awatukuvu w’Awatukuvu, n’apima empagi eziri awayingirirwa, buli emu obugazi mita emu. Omulyango gwali mita ssatu obugazi, n’ebisenge ebyayitangamu eruuyi n’eruuyi ku mulyango oguyingirirwamu mu Watukuvu w’Awatukuvu byali mita ssatu n’ekitundu obugazi. N’apima Awatukuvu w’Awatukuvu nga wali mita kkumi obuwanvu, n’obugazi mita kkumi. N’aŋŋamba nti, “Kino kye kifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu.”
N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri. Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu. Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.
Ne ndaba nga yeekaalu eriko ekifo ekyagulumira okugyebungulula nga kye kikola omusingi ogw’ebisenge eby’ebbali. Obuwanvu kyali ng’obuwanvu obw’oluti, z’emita empanvu ssatu. Waaliwo ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali. Omubiri gw’ekisenge ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu. Waaliwo ekibangirizi wakati w’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. Waaliwo n’ekibangirizi wakati wa bbugwe n’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu. 10 Ekibangirizi ekyo kyali mita kkumi obugazi. 11 Waaliwo emiryango egyayingiranga mu bisenge eby’ebbali okuva mu kibangirizi ekiri wakati w’ekisenge ekyebunguludde ebisenge eby’ebbali n’ebisenge ebyo. Emiryango egyo gyali ku luuyi olw’Obukiikakkono, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Ekibangirizi ekyo kyali mita bbiri n’ekitundu obugazi.
12 Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.
13 Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano. 14 Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.
15 N’apima obuwanvu obw’ekizimbe ekyali mu maaso g’oluggya emanju wa yeekaalu, okwo nga kw’ogasse embalaza oluuyi n’oluuyi nga wali mita amakumi ataano.
Ekifo Awatukuvu ebweru, n’ekifo Awatukuvu munda n’ekisasi mu maaso g’oluggya 16 n’awayingirirwa, n’amadirisa amafunda n’embalaza okugeetooloola gonsatule, okwolekera omulyango byonna byabikkibwako embaawo, ne wansi, n’ekisenge okutuuka ku madirisa, n’amadirisa byabikkibwako. 17 Mu bbanga eryali waggulu w’omulyango okutuuka mu wakuŋŋaanirwa munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda, ne ku bisenge mu bifo ebitali bimu okwetooloola Awatukuvu munda n’ebweru, 18 yakolebwa ne bakerubi n’enkindu, ng’olukindu luteekeddwa wakati wa bakerubi kinnababirye. Ne buli kerubi yalina ebyenyi bibiri 19 ekyenyi ky’omusajja nga kyolekedde olukindu ku luuyi olumu n’ekyenyi ky’empologoma ento nga kyolekedde olukindu oluuyi olulala. Ebyo byakolebwa okwetooloola eyeekaalu yonna. 20 Okuva wansi okutuuka mu kibangirizi ekiri waggulu w’omulyango waaliwo bakerubi n’enkindu ebyawoolebwa ebweru ku kisenge ky’Awatukuvu.
21 Omulyango ogw’Awatukuvu ebweru gwali gwa nsonda nnya era n’ogwo ogwali mu maaso g’Ekifo Ekitukuvu Ennyo gwali gugufaanana 22 Ekyoto kyabajjibwa mu muti ng’obugulumivu kiri mita emu n’ekitundu, obuwanvu n’obugazi mita emu, eruuyi n’eruuyi. Ensonda zaakyo n’obuwanvu bwakyo n’ebisenge byakyo byali bya miti. Omusajja n’aŋŋamba nti, “Eno ye mmeeza ebeera mu maaso ga Mukama.” 23 Awatukuvu n’Awatukuvu w’Awatukuvu byalina enzigi za mpayi bbiri bbiri. 24 Buli luggi lwalina empayi bbiri, buli mwango nga gulina enzigi bbiri. 25 Era ku nzigi ezo ez’Awatukuvu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu nga biri ebyayolebwa ku bisenge. Waaliwo n’akasasi akaakolebwa mu muti akali ku kisasi. 26 Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.