41
Ekirooto kya Falaawo
1 Oluvannyuma lw’emyaka ebiri emirambirira, Falaawo n’aloota ng’ayimiridde ku mugga Kiyira; 2 laba mu mugga ne muvaamu ente ennungi ensava musanvu, ne ziriira mu bisaalu. 3 Era laba ente endala embi enkovvu musanvu nazo ne ziva mu mugga, ne ziyimirira wamu na ziri ku lubalama lw’omugga. 4 Ente enkovvu, embi ne zirya ente ennungi ensava. Awo Falaawo n’azuukuka. 5 Ate n’addamu okwebaka n’aloota ekirooto ekirala, laba ebirimba eby’emmere ey’empeke musanvu ebigimu nga biri ku kiti kimu. 6 Era laba oluvannyuma ebirimba ebirala musanvu nga bikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba nabyo ne biddirira. 7 Awo ebirimba biri ebikaze ne bimira ebirimba biri omusanvu ebigimu ebirungi. Falaawo n’azuukuka, laba nga kibadde kirooto.
8 Awo ku makya Falaawo ne yeeraliikirira; n’atumya ne baleeta abalogo bonna ab’e Misiri, n’abagezigezi baamu bonna; Falaawo n’abategeeza ekirooto kye, kyokka ne watabaawo n’omu eyasobola okukivvuunulira Falaawo.
9 Awo omusenero wa Falaawo n’agamba Falaawo nti, “Ntegedde nasobya nnyo. 10 Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, nze n’omukulu w’abafumbi n’atuteeka mu kkomera, 11 ekiro kimu omukulu wa bafumbi nange twaloota ebirooto, nga buli kimu kirina amakulu ga njawulo ku kinnaakyo. 12 Mu ffe mwalimu omuvubuka Omwebbulaniya nga muddu wa mukulu w’abambowa; bwe twamutegeeza nannyonnyola buli omu ekirooto kye nga bwe kyali. 13 Nga bwe yatunnyonnyola era bwe kityo bwe kyali; nze nazzibwa ku mulimu gwange, ye omufumbiro, n’awanikibwa ku muti.”
Falaawo Ategeeza Yusufu Ekirooto kye
14 Awo Falaawo n’atumya baleete Yusufu, ne bamuleeta mangu okumuggya mu kkomera. Bwe yamala okumwebwa omutwe*okumwebwa omutwe Abamisiri baamwanga ebirevu n’enviiri, ekintu Abaebbulaniya kye bataakolanga. n’okukyusa engoye ze, n’ajja mu maaso ga Falaawo. 15 Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Naloose ekirooto, naye tewali n’omu ayinza kukivvuunula.” 16 Yusufu n’addamu Falaawo nti, “Si nze nzija okukikola, wabula Katonda y’anaabuulira Falaawo amakulu gaakyo.”
17 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, bwe nabadde nga nneebase ne ndoota nga nnyimiridde ku lubalama lw’omugga Kiyira; 18 ente ennungi ensava musanvu ne ziva mu mugga ne ziriira mu bisaalu; 19 ate ente endala ennafu embi ennyo enkovvu ze sirabangako mu nsi y’e Misiri nazo ne zijja. 20 Awo ente embi enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu ensava ezaasoose, 21 naye bwe zamaze okuzirya nga toyinza na kutegeera nti ziziridde, kubanga nga nkovvu nga bwe zaabadde olubereberye. Awo ne ndyoka nzuukuka.
22 “Ate era mu kirooto kyange nalabye ebirimba ebigimu ebirungi musanvu nga biri ku kiti kimu, 23 n’ebirimba ebirala musanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba, nabyo ne bivaayo. 24 Ebirimba ebikaze ne bimira biri ebigimu. Ebyo nabitegeezezza abagezigezi ne wabulawo n’omu abivvuunula.”
25 Awo Yusufu n’agamba Falaawo nti, “Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katonda alaze Falaawo ky’agenda okukola. 26 Ente omusanvu ennungi gy’emyaka musanvu n’ebirimba omusanvu ebigimu gy’emyaka musanvu; ekirooto kiri kimu. 27 Ente omusanvu embi enkovvu ezajja oluvannyuma, gy’emyaka musanvu, n’ebirimba omusanvu ebikaze olw’empewo ez’ebbugumu ez’ebuvanjuba gy’emyaka omusanvu egy’enjala.
28 “Nga bwe ŋŋambye Falaawo, Katonda alaze Falaawo ekyo ky’agenda okukola. 29 Wajja kubaawo emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri, 30 naye oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu egy’enjala eryerabiza ekyengera mu nsi yonna ey’e Misiri; enjala eribuna ensi. 31 Ekyengera tekirimanyika n’akatono olw’enjala empitirivu era embi ennyo, eribuna Misiri yenna. 32 Ekirooto kya Falaawo kyekivudde kiddiŋŋanwa, kitegeeza nti ekintu Katonda akikakasa era ajja kukituukiriza mangu. 33 Kale kaakano Falaawo alonde omusajja omukalabakalaba era ow’amagezi amuwe obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey’e Misiri. 34 Era asseewo abalabirira balabirire ensi bakuŋŋaanye ekimu ekyokutaano eky’emmere ey’empeke yonna mu nsi ey’e Misiri okumalirako ddala emyaka omusanvu egy’ekyengera. 35 Bakuŋŋaanye emmere eyo mu myaka egijja egy’ekyengera, bazimbe ebyagi ebinene mu buli kibuga bagikuŋŋaanyize omwo olw’ekiragiro kya Falaawo, bagikuume. 36 Emmere eyo eriterekebwa olw’enjala eriba mu nsi okumalako emyaka omusanvu egy’enjala erigwa mu Misiri yonna; ensi ereme okuzikirizibwa enjala.”
Falaawo Afuula Yusufu Omufuzi
37 Ebigambo bya Yusufu ne biwulikika bulungi mu matu ga Falaawo n’ag’abaweereza be bonna. 38 Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?” 39 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Katonda nga bw’akulaze bino byonna, tewali mulala mukalabakalaba, omugezi okukwenkana ggwe. 40 Gw’onoofuganga olubiri lwange, era abantu bange banaakolanga kyonna ky’onoobalagiranga; wabula nze kabaka n’abanga waggulu wo.” 41 Awo Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Laba, nkutadde wo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.” 42 Olwo Falaawo n’alyoka aggya empeta†Empeta zakozesebwanga okukakasa ebiwandiiko ebikulu. ku ngalo ye n’aginaanika Yusufu, n’amwambaza ekyambalo ekya linena omulungi, n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 43 N’amuwa n’okutambuliranga mu ggaali lye eriddirira mu kitiibwa ng’erya Falaawo mwe yatambuliranga. Bonna ne bavuunama mu maaso ga Yusufu nga bwe bagamba nti, “Muvuuname.” Bw’atyo Falaawo n’amuteekawo okufuga ensi yonna ey’e Misiri.
44 Falaawo n’agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, naye awatali kigambo kyo tewali muntu aliyimusa mukono gwe newaakubadde ekigere kye mu Misiri.” 45 Falaawo n’atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n’amuwa Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni okuba mukazi we. Bw’atyo Yusufu n’atambula okubuna Misiri yonna.
Ekirooto Kituukirira
46 Yusufu yali aweza emyaka amakumi asatu bwe yatandika okuweereza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Awo Yusufu n’ava mu maaso ga Falaawo n’agenda n’abuna Misiri yenna. 47 Mu myaka omusanvu egy’ekyengera emmere yabala n’ekamala. 48 Yusufu n’akuŋŋaanya emmere mu Misiri mu myaka omusanvu egy’ekyengera n’agiterekera mu byagi ebinene mu bibuga. Mu buli kibuga n’akuŋŋaanyizamu emmere eyavanga mu nnimiro ezikyetoolodde. 49 Yusufu n’atereka emmere mpitirivu, n’ebanga omusenyu ogw’oku nnyanja, okutuusa lwe yalekeraawo okugipima, nga tekisoboka kugipima.
50 Omwaka ogw’enjala nga tegunnatuuka Yusufu yafuna abaana aboobulenzi babiri, Asenaasi, muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. 51 Omwana eyasooka yamutuuma Manase, kubanga Yusufu yagamba nti, “Katonda anneerabizza obuzibu bwange bwonna, n’ennyumba ya kitange.” 52 Owookubiri n’amutuuma Efulayimu, kubanga yagamba nti, “Katonda anjazizza mu nsi mwe nabonaabonera.”
53 Awo emyaka omusanvu egy’ekyengera ekyali mu nsi y’e Misiri ne giggwaako. 54 Emyaka omusanvu egy’enjala ne gitandika nga Yusufu bwe yayogera. Enjala n’egwa n’ebuna mu nsi zonna, kyokka yo mu Misiri nga emmere mweri. 55 Enjala bwe yagwa mu Misiri, abantu ne bakaabira Falaawo olw’emmere. Falaawo n’agamba Abamisiri nti, “Mugende eri Yusufu; ky’anaabagamba, kye muba mukola.”
56 Kale enjala bwe yabuna Misiri, Yusufu n’asumulula ebyagi by’emmere byonna; n’aguza Abamisiri emmere. 57 Ensi zonna nazo ne zijja e Misiri eri Yusufu okugula emmere; kubanga enjala yayitirira mu nsi zonna.