Ekitabo Ekiyitibwa
Kaabakuuku
1
Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
 
Kaabakuuku Yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya
Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
naye n’otonnyamba?
Lwaki ondaga obutali bwenkanya
era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
empaka n’ennyombo byeyongede.
Amateeka kyegavudde gatagonderwa
era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
Okuddamu kwa Mukama
“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
gwe mutalikkiriza
newaakubadde nga mugubuuliddwa.
Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,
eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,
ababunye ensi eno n’eri
nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
Ba ntiisa, batiibwa,
be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,
nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
Bajja n’eryanyi bonna,
ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;
ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
10 Weewaawo, basekerera bakabaka
ne baduulira n’abakungu.
Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo
ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11 Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;
abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri
12 Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13 Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
omuntu amusinga obutuukirivu?
14 Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15 Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,
oluusi n’abawalula mu katimba ke,
n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye
n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
16 Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke
n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;
akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,
n’alya emmere ey’ekigagga.
17 Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,
n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?