6
Obujeemu bwa Isirayiri
1 “Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
naye ebiwundu alibinyiga.
2 Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
olwokusatu alituzza buggya,
ne tubeera balamu mu maaso ge.
3 Tumanye Mukama;
tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
4 Nkukolere ki, Efulayimu?
Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
5 Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
6 Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7 Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
tebaali beesigwa.
8 Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
9 Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 Ndabye eby’ekivve
mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.
11 “Naawe Yuda,
amakungula gatuuse.
“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,