10
1 Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde,
ogwabala ebibala byagwo.
Ebibala bye gye byeyongera obungi,
naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto;
n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga,
gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
2 Omutima gwabwe mulimba,
era ekiseera kituuse omusango gubasinge.
Mukama alimenya ebyoto byabwe,
era alizikiriza empagi zaabwe.
3 Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka
kubanga tetwatya Mukama.
Naye ne bwe twandibadde ne kabaka,
yanditukoleddeyo ki?”
4 Basuubiza bingi,
ne balayirira obwereere
nga bakola endagaano;
emisango kyegiva givaayo
ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
5 Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa
olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni.
Abantu baayo baligikungubagira,
ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala,
abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira,
kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
6 Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli
n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo.
Efulayimu aliswazibwa
ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
7 Samaliya ne kabaka we balitwalibwa
ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
8 Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo,
kye kibi kya Isirayiri.
Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe,
ne gabibikka.
Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,”
n’obusozi nti, “Mutugweko.”
9 Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
ne Yuda ateekwa okulima
ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 Musige ensigo ez’obutuukirivu,
mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
n’abafukako obutuukirivu.
13 Naye mwasimba obutali butuukirivu
ne mukungula ebibi,
era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
n’abalwanyi bo abangi,
14 olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.