14
Okwenenya Kuleeta Omukisa 
  1 Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri.  
Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa.   
 2 Mudde eri Mukama  
nga mwogera ebigambo bino nti,  
“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna,  
otwanirize n’ekisa,  
bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume.   
 3 Obwasuli tebusobola kutulokola;  
Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo.  
Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’  
nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe,  
kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.”   
 4 Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,  
ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.  
Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.   
 5 Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:  
alimulisa ng’eddanga,  
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.   
 6 Amatabi ge amato galikula;  
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,  
n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.   
 7 Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,  
era alibala ng’emmere ey’empeke.  
Alimulisa ng’omuzabbibu,  
era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.   
 8 Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo?  
Ndimwanukula ne mulabirira.  
Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze.   
 9 Abalina amagezi bategeera ensonga zino,  
era abakabakaba balibimanya.  
Amakuba ga Mukama matuufu,  
n’abatuukirivu bagatambuliramu,  
naye abajeemu bageesittaliramu.