15
Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu
1 Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
ne kimalibwawo.
Kiiri*Ali ne Kiiri bye bibuga ebikulu eby’Abamowaabu. ekya Mowaabu nakyo
ne kizikirizibwa mu kiro!
2 Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
okukaabira mu ssabo lyabwe.
Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
3 Beesibye ebibukutu mu nguudo;
ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.
Buli muntu atema emiranga
n’abikaabira amaziga amayitirivu.
4 Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
5 Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
6 Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
tewali kintu kimera.
7 Abantu basomoka akagga ak’enzingu
nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
8 Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
9 Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,
naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;
empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,
ne ku abo abalisigalawo ku nsi.