42
Omuweereza wa Katonda
Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
era alireeta obwenkanya eri amawanga.
Talireekaana
wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
Talimenya lumuli lubetentefu
oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
biririndirira amateeka ge.
 
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
“Nze Mukama,
nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
era omusana eri bannamawanga.
Okuzibula amaaso g’abazibe,
okuta abasibe okuva mu makomera
n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
 
“Nze Mukama,
eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
Laba, ebyo bye nagamba nti
biribaawo bituuse,
kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;
mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
Oluyimba olw’Okutendereza Mukama
10 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11 Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,
ebyalo Kedali mw’atuula.
Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.
Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12 Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13 Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,
era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,
n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.
Era aliwangula abalabe be.
Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be
14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,
nga nsirise neekuumye.
Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,
nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15 Ndizikiriza ensozi n’obusozi,
egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.
Era ndikaza ebinywa byabwe byonna
n’emigga ndigifuula ebizinga.
16 Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
sirireka bantu bange.
17 Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,
‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,
era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa
18 “Muwulire mmwe bakiggala,
mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19 Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,
oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?
Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,
oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
20 Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,
amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
21 Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe
okukuza amateeka ge
n’okugassaamu ekitiibwa.
22 Naye bano, bantu be,
ababbibwa ne banyagibwa bonna
ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera.
Bafuuka munyago
nga tewali n’omu abanunula,
bafuuliddwa abanyage
nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
 
23 Ani ku mmwe anaawuliriza kino,
oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?
24 Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago
ne Isirayiri eri abanyazi?
Teyali Mukama gwe twayonoona?
Ekyo yakikola
kubanga tebaagoberera makubo ge.
Tebaagondera mateeka ge.
25 Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka
n’obulumi bw’entalo.
Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.
Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.