44
Isirayiri Eyalondebwa
1 “Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,
ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,*Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri omuweereza wange,
ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3 Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
4 Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,
babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
5 Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’
n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,
n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’
ne yeetuuma Isirayiri.
6 “Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we,
Mukama Katonda ow’Eggye:
Nze w’olubereberye era nze nkomererayo
era tewali Katonda mulala we ndi.
7 Ani afaanana nga nze,
akirangirire,
eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo
okuviira ddala ku ntandikwa?
Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.
Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?
Mmwe bajulirwa bange.
Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.
Tewali Lwazi lulala,
sirina lwe mmanyi.”
9 Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
12 Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
tanywa mazzi era akoowa.
13 Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
enkuba n’egikuza.
15 Abantu bagukozesa ng’enku,
ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
ekitundu ekirala akyokesa ennyama
n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
“Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,
tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
Mukama, Omutonzi era Omulokozi
21 “Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;
oli muweereza wange ggwe Isirayiri.
Nze nakubumba, oli muweereza wange,
ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
23 Yimba n’essanyu ggwe eggulu
kubanga ekyo Mukama yakikoze.
Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.
Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu.
Mukama anunudde Yakobo
era yeegulumiriza mu Isirayiri.
Yerusaalemi kya Kuzzibwawo
24 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
eyakutondera mu lubuto.
“Nze Mukama,
eyatonda ebintu byonna,
eyabamba eggulu nzekka,
eyayanjuluza ensi obwomu,
25 asazaamu abalaguzi bye balagudde
era abalogo abafuula abasirusiru.
Asaabulula eby’abagezi
n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
26 Anyweza ekigambo ky’omuweereza we
n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange.
“Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’
ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’
ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,
era ndikaliza emigga gyo.’
28 Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange
era alituukiriza bye njagala byonna.’
Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’
ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”