64
Okusingibwa Omusango mu Maaso ga Mukama
1 Kale singa oyuzizza eggulu n’okka wansi,
ensozi ne zikankana mu maaso go!
2 Ng’omuliro bwe gukoleerera mu buku,
oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera,
ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo,
n’amawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3 Kubanga bwe wakola ebintu eby’entiisa bye twali tetusuubira,
wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4 Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde
oba kutu kwali kutegedde,
oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe,
alwanirira abo abamulindirira.
5 Ojja n’odduukirira abo abakola eby’obutuukirivu n’essanyu,
abo abajjukira amakubo go.
Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu.
Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe,
ddala tulirokolebwa?
6 Ffenna twafuuka batali balongoofu
era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu*obukyafu wano kitegeeza abakyala nga bavudde mu nsonga yaabwe eya buli mwezi.
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7 Tewali n’omu akoowoola linnya lyo
oba eyewaliriza okukukwatako,
kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go,
era n’otuwaayo ne tuzikirira olw’ebibi byaffe.
8 Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.
Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,
ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9 Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda,
tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna.
Weewaawo, tutunuulire, tusaba,
kubanga tuli bantu bo.
10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu,
ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11 Yeekaalu yaffe entukuvu ey’ekitiibwa
bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro,
era byonna eby’obugagga bye twakuumanga byazikirira.
12 Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo?
Onoosirika busirisi n’otubonereza ekisukiridde?