50
Obubaka Obukwata ku Babulooni
Kino kye kigambo Mukama Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya.
“Buulira mu mawanga era olangirire,
yimusa bendera olangirire,
tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,
‘Babulooni eriwambibwa;
Beri kiswale,
ne Meroddaaki kijjule entiisa.
Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswala
era bitye.’
Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.
 
“Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”
bw’ayogera Mukama,
“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yuda
balikaaba amaziga nga banoonya Mukama Katonda waabwe.
Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuni
era bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,
Mujje twesibe ku Mukama Katonda
mu ndagaano ey’emirembe gyonna
etegenda kwerabirwa.
 
“Abantu bange babadde ndiga ezibuze;
abasumba baabwe babawabizza
ne babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.
Baava ku lusozi ne badda ku kasozi
ne beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’
 
“Mudduke okuva e Babulooni;
muleke ensi y’Abakaludaaya,
mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo.
Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amanene
okuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.
Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,
bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.
Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,
abataddira awo ngalo nsa.
10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;
abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
 
11 “Kubanga musanyuka ne mujaguza,
mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
olw’ebiwundu bye byonna.
 
14 “Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,
mwenna abanaanuula omutego.
Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,
kubanga yajeemera Mukama Katonda.
15 Mumukube olube ku buli ludda.
Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
mumwesasuzeeko;
mumukole nga bw’akoze abalala.
16 Asiga mumuggye mu Babulooni,
n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.
Olw’ekitala ky’omujoozi,
leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,
buli muntu adde eri abantu be.
 
17 “Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”
18 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye
nga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19 Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kye
era aliriira ku Kalumeeri ne Basani;
alikuttira
ku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20 Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo.
 
21 “Mulumbe ensi ye Merasayimu
n’abo abali mu Pekodi.
Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Mukole byonna bye mbalagidde.
22 Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,
eddoboozi ery’okuzikiriza okunene!
23 Ennyondo y’ensi yonna
ng’ekubiddwa n’emenyeka!
Babulooni kifuuse matongo
mu mawanga!
24 Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,
babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,
baakukwata ne bakuwamba
kubanga wawakanya Mukama.
25 Mukama agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa bye
naggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,
kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukola
mu nsi y’Abakaludaaya.
26 Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,
mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,
mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.
Mumuzikiririze ddala;
waleme kusigalawo n’omu ku bo.
27 Mutte ennume zaabwe zonna,
muzitwale zittibwe.
Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,
kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa.
28 Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooni
nga balangirira mu Sayuuni
engeri Mukama Katonda waffe gye yeesasuzza,
gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye.
 
29 “Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
Omutukuvu wa Isirayiri.
30 Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;
abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
31 “Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”
bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
“Kubanga olunaku lwo lutuuse,
ekiseera ky’on’obonerezebwamu.
32 Oyo ow’amalala alyesittala agwe
era teri n’omu alimuyamba kuyimuka;
Ndikoleeza omuliro mu bibuga bye
oguliyokya bonna abamwetoolodde.”
33 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwa
awamu n’abantu ba Yuda;
Bonna ababawambye babanywezezza,
bagaanye okubata.
34 Omununuzi waabwe w’amaanyi,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,
alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;
wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni.
 
35 “Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”
bw’ayogera Mukama,
“n’eri abo ababeera mu Babulooni,
n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi!
36 Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!
Balifuuka balisiriwala,
ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.
Balijjula entiisa.
37 Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaali
n’abagwira bonna abamubeeramu!
Balifuuka banafu ng’abakazi.
Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!
Birinyagibwa!
38 Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!
Galikalira.
Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,
ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa.
 
39 “Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,
era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.
Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantu
wadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna.
40 Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomola
n’ebibuga ebiriraanyeewo,”
bw’ayogera Mukama,
“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;
tewaliba n’omu alikisigalamu.
 
41 “Laba, eggye liva mu bukiikakkono;
ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,
bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi.
42 Balina obusaale n’amafumu,
bakambwe si ba kisa.
Beebagadde embalaasi zaabwe
ne baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;
bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalo
okukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni.
43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,
n’emikono gye girebedde.
Entiisa emugwiridde,
ng’omukazi alumwa okuzaala.
44 Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaani
okugenda mu ddundiro eggimu,
Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.
Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?
Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?”
 
45 Noolwekyo, wulira Mukama ky’ategekedde Babulooni,
ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.
Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,
alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe.
46 Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;
okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.