2
Okusaba kwa Yona 
  1 Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba   2 nti,  
“Mu nnaku yange ennyingi  
nakaabirira Mukama n’anziramu;  
mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,  
era n’owulira eddoboozi lyange!   
 3 Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,  
ne nzika, amayengo gonna,  
ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta  
ne bimbikka  
ne binneetooloola.   
 4 Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa  
mu maaso go;  
Ddala ndiddayo nate  
okulaba yeekaalu yo entukuvu?’   
 5 Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;  
Amazzi nga ganneetoolodde  
era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.   
 6 Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,  
ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.  
Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,  
Ayi Mukama Katonda wange.   
 7 “Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika  
ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.  
Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka  
mu yeekaalu yo entukuvu.   
 8 “Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,  
beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!   
 9 Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,  
ndikuwa ssaddaaka.  
Ddala ndituukiriza obweyamo bwange  
kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”   
 10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.