2
Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba
Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, “Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 10  Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11  “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 12 Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Yesu Ayita Leevi
13 Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja ekibiina ky’abantu ne bajja gy’ali, n’abayigiriza. 14 Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera. 15 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde, 16 abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?” 17 Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Yesu Bamubuuza ku by’Okusiiba
18 Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” 19 Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo? 20  Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba. 21  Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa. 22  Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”
Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti
23 Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke. 24 Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.” 25 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo, 26  bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.” 27 N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti. 28  Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”