2
Okugwa kwa Nineeve
Nineeve, olumbiddwa omulabe;
kuuma ekigo,
Kuuma ekkubo,
weesibire ddala onywere mu kiwato,
kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,
kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri,
newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo,
ne boonoona emizabbibu gyabwe.
 
Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu
n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo.
Amagaali g’ebyuuma gamasamasa
ku lunaku lwe gategekebwa,
era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,
gadda eno n’eri,
galabika ng’emimuli egyaka,
gamyansa ng’eggulu.
 
Omuduumizi bw’ayita abalwanyi be
bajja bagwirana.
Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga
we beetegekera okwerwanako.
Enzigi ez’omugga zigguddwawo,
amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
Etteeka lyayisibwa ku kibuga
nti kiriwaŋŋangusibwa,
abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba,
nga bwe beekuba mu bifuba.
Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba
eky’amazzi agakalira.
Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!”
bo beeyongerayo bweyongezi.
Ffeeza yaakyo temugirekaawo,
ne zaabu nayo mugitwalire ddala,
omunyago teguggwaayo,
eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
10 Ekibuga kisigadde kyangaala!
Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,
amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
 
11 Eri ludda wa empuku y’empologoma,
ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,
empologoma ensajja, n’enkazi,
n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
12 Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala,
n’enkazi n’ezittira eyaazo,
n’ejjuza empuku n’omuyiggo,
ne mu bisulo ne mujjula ennyama.
 
13 “Laba nze Mukama ow’Eggye
nkwolekedde,
era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,
n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento.
Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,
n’eddoboozi ly’ababaka bo
teririddayo kuwulirwa.”