3
Amannya g’abo Abaazimba Bbugwe
1 Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola n’okuddaabiriza Omulyango gw’Endiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu n’enzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, n’okweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama. 2 Abasajja ab’e Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli n’addaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.
3 Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja, ne bazzaawo emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo mu kifo kyabyo. 4 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana n’addaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo. 5 Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe.
6 Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogw’Edda, ne bazaamu emyango n’enzigi zaagwo, n’eminyolo n’ebyuma byagwo. 7 Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni n’abasajja ab’e Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi n’abasajja ab’e Mizupa. Ebyo by’ebifo ebyafugibwanga ow’essaza eriri emitala w’omugga Fulaati. 8 Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi w’obuwoowo, n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi. 9 Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 10 Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; n’ekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’akiddaabiriza. 11 Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Ekikoomi. 12 Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be.
13 Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.
14 Malukiya mutabani wa Lekabu ow’eggombolola y’e Besukakkeremu n’addaabiriza Omulyango ogw’Obusa, n’azzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo.
15 Salluni mutabani wa Kolukoze ow’eggombolola y’e Mizupa n’addaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi, n’azzaamu enzigi zaagwo n’emiryango gyagwo n’ebyuma byagwo. N’addaabiriza n’ekisenge eky’Ekidiba kya Seera*Seera kye kimu ne Sirowamu ekiriraanye ennimiro ya kabaka, okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi. 16 Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu ky’eggombolola y’e Besuzuli†Besuzuli yali nkambi ya magye g’abakuumi ba Dawudi (2Sa 23:8-39). n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku kifo ekyolekera ebiggya bya Dawudi, n’okutuuka ku kidiba ekyasimibwa, n’okutuuka ku Nnyumba y’Abalwanyi Abazira.
17 Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu ky’eggombolola ly’e Keyira n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola ye. 18 Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri eky’egombolola ly’e Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 19 Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze w’e Mizupa n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira, n’atuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa. 20 Baluki mutabani wa Zabbayi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira n’obunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu. 21 Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.
22 Bakabona ab’omu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira. 23 Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye n’addaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye. 24 Binnuyi mutabani wa Kenadadi n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe, 25 Palali mutabani wa Uzayi n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olw’ekyengulu okuliraana oluggya lw’abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi 26 n’abakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gw’Amazzi ng’agenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa. 27 Abasajja b’e Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.
28 Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu w’Omulyango ogw’Embalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye. 29 Zadooki mutabani wa Immeri n’addaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi w’omulyango gw’ebuvanjuba n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. 30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu ow’omukaaga n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya n’addaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge. 31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu n’addaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba y’abaweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, n’okutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda. 32 Abaweesi ba zaabu n’abasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu ku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.