9
Abayirisirayiri Baatula Ebibi Byabwe
Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe. Ab’ezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bannamawanga bonna, ne bayimirira mu bifo byabwe ne baatula ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe. Ne bayimirira we baali ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu, n’oluvannyuma ne baatula era ne basinza Mukama Katonda waabwe okumala essaawa endala nga ssatu. Bano be Baleevi abaali bayimiridde ku madaala: Yesuwa, ne Baani, ne Kadumyeri, ne Sebaniya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani ne Kenani, abaakoowoolanga Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi ery’omwanguka. Awo Abaleevi, Yesuwa, ne Kadumyeri, ne Baani, ne Kasabuneya, ne Serebiya, ne Kodiya, ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti, “Muyimirire, mwebaze Mukama Katonda wammwe ow’emirembe n’emirembe.”
“Erinnya lyo ligulumizibwe, litiibwe era ligulumizibwe okukira okusinza kwonna n’okutendereza kwonna. Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, n’eggulu erya waggulu, n’eggye lyalyo lyonna, n’ensi n’ebigirimu byonna, n’ennyanja n’ebigirimu byonna. Buli kintu gw’okiwa obulamu, era n’eggye ery’omu ggulu likusinza.
“Ggwe Mukama Katonda, eyalonda Ibulaamu n’omuggya mu Uli eky’Abakaludaaya n’omutuuma Ibulayimu. Walaba omutima gwe nga mwesigwa gy’oli, n’okola naye endagaano, okuwa bazzukulu be ensi ey’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abayebusi, n’Abagirugaasi; era otuukiriza ekyo kye wasuubiza kubanga oli mutuukirivu.
“Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri, n’owulira okukaaba kwabwe ku lubalama lw’Ennyanja Emyufu.*ye Nnyanja ey’Ebitoogo 10 Waweereza obubonero obwewuunyisa n’ebyamagero eri Falaawo, n’eri abakungu be, n’eri abantu be bonna ab’ensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, n’okutuusa leero. 11 Wayawula mu mazzi g’ennyanja n’ogalaza ebbali n’ebbali mu maaso gaabwe, ne bayita wakati mu y’oku lukalu, naye abaali babagoberera wabazaaya mu buziba, ng’ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag’amaanyi. 12 Emisana wakulemberanga abantu bo n’empagi ey’ekire, era n’ekiro wabakulemberanga n’empagi ey’omuliro okubamulisiza ekkubo lye baali bateekwa okukwata.
13 “Wava mu ggulu, n’okka ku Lusozi Sinaayi n’oyogera gye bali. Wabawa ebiragiro eby’obwenkanya, n’amateeka ag’amazima, byonna nga birungi. 14 Wabamanyisa Ssabbiiti yo entukuvu, era n’obawa ebiragiro n’amateeka ng’oyita mu muddu wo Musa. 15 Bwe baalumwa enjala wabawa emmere okuva mu ggulu, ne bwe baalumwa ennyonta n’obawa amazzi okuva mu lwazi; n’obagamba bagende balye ensi gye wabalayiririra.
16 “Naye bo bajjajjaffe ne beekulumbaza ne bakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera biragiro byo. 17 Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, ow’ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka. 18 Ne bwe beebumbira ennyana ensanuuse ne boogera nti, ‘Ono ye katonda wammwe eyabaggya mu Misiri,’ ne bakola n’ebitasaana bingi, mu kusaasira kwo okungi tewabaleka mu ddungu.
19 “Emisana, empagi ey’ekire teyalekerawo kubaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, newaakubadde ekiro, empagi ey’omuliro nayo teyalekerawo kubaakira mu kkubo lye baali bateekwa okukwata. 20 Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga n’amazzi okumalawo ennyonta yaabwe. 21 Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so n’engoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.
22 “Wabawa obwakabaka n’amawanga, n’obawa na buli nsonda ey’ebyalo. Baalya ensi ya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. 23 Wayaza abazzukulu baabwe ne baba bangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, n’obaleeta mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagirye. 24 Bazzukulu baabwe baayingira ne balya ensi, ne bawangula Abakanani abaabeeranga mu nsi, n’obawaayo mu mikono gyabwe wamu ne bakabaka baabwe, n’abantu b’ensi zaabwe ne babakola nga bwe baagala. 25 Baawamba ebibuga ebyaliko bbugwe n’ensi enjimu, ne batwala amayumba agaali gajudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, enzizi ezasimibwa edda, n’ennimiro ez’emizabbibu, n’ennimiro ez’emizeeyituuni, n’emiti egy’ebibala mingi nnyo. Baalya ne bakkuta era ne banyirira, n’okubasanyusa n’obasanyusanga olw’obulungi bwo.
26 “Naye tebaakugondera, baakujeemera ne batagoberera mateeka go. Batta bannabbi bo, abaababuuliriranga okudda gy’oli; baakola ebitasaana. 27 Kyewava obawaayo eri abalabe baabwe ne bababonyaabonya. Naye nga babonaabona bwe batyo, ne bakukaabirira, n’obawulira okuva mu ggulu, n’olw’okusaasira kwo okungi ennyo n’obaweereza abaabanunula era abaabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.
28 “Naye bwe baafunanga emirembe, baddangamu okukola ebibi mu maaso go. Kyewava obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, babafuge. Bwe baakukaabiriranga nate, ng’obawulira okuva mu ggulu, n’obalokolanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kuli.
29 “Wabalabula okuddamu okugoberera amateeka go, naye ne baba b’amalala, ne batagondera biragiro byo. Baajeemera ebiragiro, ebireetera omuntu obulamu bw’aba ng’abigondedde. Baakunyooma ne bakuvaako, ne bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira. 30 Wabagumiikiriza okumala emyaka mingi, Omwoyo wo n’abayigirizanga ng’ayita mu bannabbi bo, naye ne batassaayo mwoyo, kyewava obawaayo mu mukono gw’abamawanga agabaliraanye. 31 Naye olw’okusaasira kwo okungi, tewabaviirako ddala so tewabaleka, kubanga oli Katonda ow’ekisa era ajjudde okusaasira.
32 “Kale nno, Ayi Katonda waffe, omukulu ow’ekitiibwa, Katonda ow’entiisa, akuuma endagaano ye ey’okwagala, toganya bizibu bino byonna kututuukako: ebizibu ebyatuuka ne ku bakabaka baffe, ne ku bakulembeze baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna okuva mu biro ebya bakabaka b’e Bwasuli n’okutuusa leero. 33 Mu byonna ebitutuukako, wali wa bwenkanya, era omwesigwa naye ffe nga tukola bibi byereere. 34 Bakabaka baffe, n’abakulembeze baffe, ne bakabona baffe, ne bajjajjaffe, tebaagobereranga mateeka go, nga tebassaayo mwoyo ku biragiro byo newaakubadde nga wabalabulanga. 35 Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi.
36 “Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu n’ebirungi ebirala by’ereeta. 37 Olw’ebibi byaffe, ebikungulwa eby’ensi eyo ebingi bitwalibwa bakabaka be wassaawo okutufuga. Batufuga n’ente zaffe nga bwe baagala, era tuli mu nnaku nnyingi nnyo.”
Endagaano ey’Abantu ne Katonda waabwe
38 “Olw’ebyo byonna, tukola naawe endagaano ey’enkalakkalira, ne tugiteeka mu buwandiike; abakulembeze baffe, n’Abaleevi baffe, ne bakabona baffe ne bagissaako omukono n’envumbo zaabwe.”
 

*9:9 ye Nnyanja ey’Ebitoogo