17
Okutojjera kw’Omuggo gwa Alooni
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri baleete emiggo kkumi n’ebiri nga gireetebwa abakulembeze baabwe mu buli kika, omuggo gumu buli kika. Owandiike erinnya lya buli musajja ku muggo gwe gw’aleese. Wandiika erinnya lya Alooni ku muggo oguvudde mu kika kya Leevi. Kubanga buli mukulembeze w’ekika ky’obujjajja ajja kubeera n’omuggo ggumu. Olyoke ogiteeke mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, we mbasisinkana. Kale nno omuggo gw’oyo gwe nnaalonda gujja kutojjera; bwe ntyo nzija kusirisa okukwemulugunyiza kuno okutatadde okw’abaana ba Isirayiri.”
Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri; abakulembeze baabwe ne bamuleetera emiggo, buli mukulembeze omuggo gumu gumu, ng’ebika by’obujjajjaabwe bwe byali, okugatta gyonna gy’emiggo kkumi n’ebiri, nga n’omuggo gwa Alooni mwe guli. Musa n’ateeka emiggo egyo mu maaso ga Mukama Katonda mu Weema ya Mukama ey’Endagaano.
Awo bwe bwakya enkya Musa n’ayingira mu Weema ya Mukama awali Essanduuko ey’Endagaano, era laba, ng’omuggo gwa Alooni ow’omu kika kya Leevi nga gutojjedde nga guliko n’obutabi obuto, nga gutaddeko n’ebibala ebyengedde. Musa n’afulumya emiggo gyonna ng’agiggya mu maaso ga Mukama Katonda, n’agireeta awali abaana ba Isirayiri; ne bagitunuulira, buli omu n’aggyawo omuggo gwe.
10 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Omuggo gwa Alooni guzzeeyo awali Essanduuko ey’Endagaano gukuumirwenga awo ng’akabonero ak’okulabulanga abajeemu. Ekyo kinaasirisa okunneemulugunyiza, balyoke bawone okufa.” 11 Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira.
12 Awo abaana ba Isirayiri ne bagamba Musa nti, “Laba, ffenna tujja kufa! Tujja kuggwaawo, tujja kuzikirira. 13 Buli muntu anaasembereranga Eweema ya Mukama ajjanga kufa. Ffenna tuli ba kuzikirira?”