2
Empeera y’Okunoonya Amagezi
Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
 
Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10 Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
 
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
 
16 Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
 
20 Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21 Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
era abo abagolokofu baligisigalamu.
22 Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
n’abatali beesigwa balizikirizibwa.