27
Amagezi aga Leero n’Ebiseera eby’omu mu Maaso
1 Teweenyumirizanga mu bya nkya,
kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
2 Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe,
omuntu omulala so si mimwa gyo.
3 Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito,
naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.
4 Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo,
naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?
5 Okunenya mu lwatu,
kisinga okwagala okukisibbwa.
6 Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi,
naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.
7 Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki,
naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.
8 Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako,
bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.
9 Ebyakaloosa bisanyusa omutima,
n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.
10 Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga,
olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana.
Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
11 Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange,
ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
12 Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka,
naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
13 Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi,
era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.
14 Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana,
obanga amukolimidde.
15 Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata,
ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
16 Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba
ng’anyweza omuzigo mu ngalo.
17 Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma,
n’omuntu bw’abangula muntu munne.
18 Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo,
n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
19 Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso,
bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.
20 Amagombe ne ggeyeena tebikkuta,
n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.
21 Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu,
naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.
22 Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu,
nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu,
obusirusiru bwe tobumuggyaamu.
23 Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo,
ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
24 Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna,
n’engule tebeerera mirembe gyonna.
25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo,
nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala,
n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo,
n’okuliisa abaweereza bo abawala.