Zabbuli 26
Zabbuli ya Dawudi.
1 Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;*Okunaaba mu ngalo mu lujjudde, kaali kabonero akalaga ng’omuntu oyo bw’atalina musango
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
*Zabbuli 26:6 Okunaaba mu ngalo mu lujjudde, kaali kabonero akalaga ng’omuntu oyo bw’atalina musango