Zabbuli 38
Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
1 Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
2 Kubanga obusaale bwo bunfumise,
n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
3 Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
4 Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.
5 Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
6 Nkootakoota era mpweddemu ensa,
ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
7 Omugongo gunnuma nnyo,
ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
8 Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.
9 Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
n’okusinda kwange okuwulira.
10 Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
n’okulaba sikyalaba.
11 Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
ne bannange tebakyansemberera.
12 Abaagala okunzita bantega emitego,
n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
atasobola kwanukula.
15 Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 Tobakkiriza kunneeyagalirako,
oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.
17 Kubanga nsemberedde okugwa,
era nga nnumwa buli kiseera.
18 Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
nnumirizibwa ekibi kyange.
19 Abalabe bange bangi era ba maanyi;
n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.
21 Ayi Mukama, tonjabulira;
tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 Ayi Mukama Omulokozi wange,
yanguwa okumbeera.