Zabbuli 60
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
1 Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
2 Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
3 Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4 Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
era akatiisa abalabe baabwe.
5 Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
6 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
“Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
7 Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
8 Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala na magye gaffe?
11 Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.