Zabbuli 95
Mujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
 
Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.
 
Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
Kubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.
 
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba*Meriba kitegeeza okwemulugunya,
ne ku lunaku luli e MaasaMaasa kitegeeza kugezesa mu ddungu;
bajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

*Zabbuli 95:8 Meriba kitegeeza okwemulugunya

Zabbuli 95:8 Maasa kitegeeza kugezesa