Zabbuli 98
Zabbuli.
1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
kubanga akoze eby’ekitalo.
Omukono gwe ogwa ddyo,
era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
2 Mukama ayolesezza obulokozi bwe,
era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
3 Ajjukidde okwagala kwe okutakoma
n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri.
Enkomerero z’ensi yonna zirabye
obulokozi bwa Katonda waffe.
4 Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna;
muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
5 Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba;
n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
6 n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe.
Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.
7 Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu,
n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
8 Emigga gikube mu ngalo
n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
9 byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
aliramula amawanga mu bwenkanya.