Zabbuli 110
Zabbuli ya Dawudi.
Mukama yagamba Mukama wange nti:
 
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.*Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.
 
Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
 
Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
 
Mukama anaakulwaniriranga;
bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.

*Zabbuli 110:1 Entebe ez’obwakabaka ez’edda, zaateekebwanga waggulu, kabaka ng’alina kulinnya maddaala okutuulako. Bakabaka abaawangulanga abalabe baabwe, babafufugazanga ne babassa wansi w’ebigere byabwe.