Zabbuli 147
Mutendereze Mukama!
 
Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
 
Mukama azimba Yerusaalemi;
era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
era buli emu n’agituuma erinnya.
Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
Mukama awanirira abawombeefu,
naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
 
Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
 
Mukama abikka eggulu n’ebire,
ensi agitonnyeseza enkuba,
n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
 
10 Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
 
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 Aleeta emirembe ku nsalo zo;
n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
 
15 Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.
 
Mutendereze Mukama!