2
Omusango Katonda Aligusala na Bwenkanya
Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango. Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ng’ebyo. Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lw’ekiruyi n’okubikkulirwa, Katonda lw’alisalirako omusango ogw’obutuukirivu. Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 10 Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 11 Kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12 Abo bonna abaayonoona olw’obutamanya mateeka, balizikirira; era n’abo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka. 13 Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu. 14 Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu eby’Amateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ng’Amateeka tegaabaweebwa. 15 Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi. 16 Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kw’aliramulira abantu olw’ebyo bye baakisa, ng’enjiri yange bw’eri ku bwa Yesu Kristo.
Abayudaaya n’Amateeka
17 Abamu ku mmwe mweyita Bayudaaya. Mwesiga amateeka ne mwewaana nga bwe mumanyi Katonda. 18 Bwe musoma ebyawandiikibwa muyiga engeri Katonda gy’ayagala mweyise ne muzuula ekituufu. 19 Mukakasa nga bwe muli abakulembeze b’abazibe b’amaaso, era ettabaaza eri abo bonna abali mu kizikiza. 20 Naye olwokubanga, amateeka ga Katonda gatuwa amagezi n’amazima, mulowooza muyinza okuyigiriza abatali bagezi n’abaana abato. 21 Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki toyinza kweyigiriza wekka? Ategeeza abalala obutabba, tobba? 22 Ategeeza obutayenda, toyenda? Akyawa ebifaananyi, si ggwe onyaga eby’omu masabo? 23 Mwenyumiririza mu mateeka, naye ne muswaza Katonda olw’obutagatuukiriza. 24 Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Olw’ebikolwa byammwe ebyo, erinnya lya Katonda kyelivudde livvoolebwa mu mawanga.”
25 Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole. 26 Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ng’eyakomolebwa? 27 Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.
28 Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 29 Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.