7
Mukama Avumirira Okusiiba okw’Obulimba
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu. 2 Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki n’abantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama, 3 n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
4 Awo ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nga kigamba nti, 5 “Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze? 6 Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe? 7 Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’ ”
8 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti, 9 “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. 10 Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
11 “Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira. 12 Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.
13 “ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”