Ekitabo Ekiyitibwa
Zeffaniya
1
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda
“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
bw’ayogera Mukama.
Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu
ku nnyumba waggulu,
ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,
ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
abo abadda emabega obutagoberera Mukama,
wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.
 
Siriikirira awali Mukama Katonda,
kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.
Mukama ategese ssaddaaka,
era atukuzizza abagenyi be.
 
Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,
ndibonereza abakungu
n’abaana ba Kabaka,
n’abo bonna abambadde
ebyambalo ebitasaana.
Awo ku lunaku olwo ndibonereza
abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
 
10 Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,
eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,
okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,
n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
11 Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;
abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,
n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
12 Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,
mbonereze abo bonna abalagajjavu
abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,
abalowooza nti Mukama
talibaako ne ky’akolawo.
13 Obugagga bwabwe bulinyagibwa,
n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.
Ne bwe balizimba ennyumba
tebalizituulamu,
era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo
tebalinywa wayini wamu.
Olunaku lwa Mukama Olukulu
14 Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
ku bibuga ebiriko ebigo
n’eri eminaala emigulumivu.
 
17 Ndireeta, obuyinike ku bantu,
batambule ng’abazibe b’amaaso,
kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,
omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,
n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
18 Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
tebiriyinza kubataasa
ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.
 
Ensi yonna erizikirizibwa
omuliro gw’obuggya bwe,
era alimalirawo ddala
abo bonna abali mu nsi.