8
Okugaba kw’Abakristaayo
1 Kaakano tubategeeza abooluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa ekkanisa z’e Makedoniya.
2 Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo.
3 Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira.
4 Baatwegayirira tubatwalire ebirabo byabwe, nabo basanyukire wamu ne bannaabwe abaweerezza obuyambi eri abatukuvu.
5 Ate era kye twali tutasuubidde, baasooka kwewaayo eri Mukama, n’oluvannyuma gye tuli olw’okwagala kwa Katonda.
6 Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa.
7 Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
8 Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima.
9 Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
10 Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako.
11 Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina.
12 Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana.
14 Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga.
15 Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”
Tito Atumibwa e Kkolinso ne Banne
16 Kyokka Katonda yeebazibwe eyassa obunyiikivu bwe bumu mu mutima gwa Tito ku lwammwe.
17 Olw’okuzzibwamu amaanyi kwe yafuna, n’olw’okufuba kwe, yajja gye muli.
18 Era tutumye wamu naye owooluganda atenderezebwa olw’enjiri mu kkanisa zonna,
19 naye si ekyo kyokka wabula yalondebwa okutambulanga naffe olw’ekisa kye tuweereza ffe olwa Mukama waffe yennyini n’olw’okugulumiza n’okulaga nga bwe twetegese okuyamba,
20 nga twewala omuntu yenna okutunenya olw’ekirabo kino kye tuweereza.
21 Kubanga kye tugenderera kwe kukola ebirungi, si mu maaso ga Katonda yekka wabula ne mu maaso g’abantu.
22 Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu.
23 Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo.
24 Noolwekyo okwagala kwammwe n’okwenyumiriza kwammwe byeyoleke gye bali.