6
Danyeri asuulibwa mu Mpuku y’Empologoma
1 Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna,
2 era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo.
3 Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna.
4 Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu.
5 Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”
6 Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale!
7 Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma.
8 Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”
9 Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe.
10 Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo.
11 Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we.
12 Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”
Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
13 Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
14 Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.
15 Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”
16 Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”
17 Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri.
18 Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.
19 Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma.
20 Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”
21 Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka.
22 Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”
23 Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.
24 Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
25 Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,
“Emirembe gibeere gye muli!
26 “Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.
“Kubanga ye Katonda omulamu,
abeerera emirembe gyonna;
n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,
n’okufuga kwe tekulikoma.
27 Alokola era awonya:
akola obubonero n’ebyamagero
mu ggulu ne ku nsi.
Yalokodde Danyeri
mu mannyo g’empologoma.”
28 Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.