16
Embaga ey’Okuyitako
Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri. Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye. Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.
Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako, wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo. Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.
Embaga ey’Amakungula
Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lw’onookungulanga emmere ey’empeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka. 10 Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde. 11 Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe. 12 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza.
Embaga ey’Ensiisira
13 Onookwatanga Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu ng’omaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ng’omuggye mu ssogolero lyo. 14 Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo. 15 Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.
16 Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali Mukama. 17 Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.
Abalamuzi
18 Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza. 19 Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu. 20 Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Obutasinzanga Bakatonda Balala
21 Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga Mukama Katonda wo; 22 wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.