23
Abatakkirizibwenga mu Kuŋŋaaniro lya Mukama
1 “Omuntu yenna ng’ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
2 “Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
3 “Abamoni n’Abamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
4 Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira.
5 Kyokka Mukama Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo.
6 Tokolanga nabo endagaano ey’omukwano n’okubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu.
7 “Omwedomu tomukyawanga kubanga omulinako oluganda. Tokyawanga Mumisiri n’omu kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe.
8 Abaana baabwe ab’omulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
Obutali Bulongoofu mu Lusiisira
9 “Bw’onoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe.
10 Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bw’atyo n’aba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira n’abeera ebweru.
11 Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga n’amazzi; enjuba bw’eneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira.
12 “Onootegekanga ekifo ebweru w’olusiisira ky’onoolagangamu okweteewuluza.
13 Onoogendangayo n’eby’okukozesa. Onootwalanga ekifumu, bw’onoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya n’oziikamu ebyo ebivudde mu nda yo.
14 Kubanga Mukama Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ng’akulabirira n’okukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, Mukama alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako.
Amateeka Agatali Gamu
15 “Omuddu omugule bw’anaabombanga n’ava ku mukama we mu nsi endala, n’ajja ne yeekweka gy’oli, tomuzzangayo wa mukama we.
16 Omulekanga n’abeera naawe wakati mu mmwe, mu kimu ku bibuga byo ky’aneerobozanga. Tomujooganga.
17 “Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya ab’omu masabo, n’abasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri.
18 Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.
19 “Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo.
20 Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira.
21 “Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo.
22 Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango.
23 Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.
24 “Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka.
25 Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”