33
Musa Asabira Ebika bya Isirayiri Omukisa Omulundi gwe Ogwasembayo
Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. Yagamba nti,
Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi
n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;
yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.
Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu
okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.
Mazima gw’oyagala abantu,
abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.
Bavuunama wansi ku bigere byo
ne bawulira ebiragiro by’obawa.
Ge mateeka Musa ge yatuwa
ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.
Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni
abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.
 
“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo
n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”
Kino kye yayogera ku Yuda:
“Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda;
omuleete eri abantu be.
Yeerwaneko n’emikono gye.
Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”
Bino bye yayogera ku Leevi:
“Sumimu wo ne Ulimu wo
biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.
Wamukebera e Masa
n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.
Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,
‘Abo sibafaako.’
Baganda be teyabategeeranga
wadde okusembeza abaana be;
baalabiriranga ekigambo kyo
ne bakuumanga endagaano yo.
10 Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo
ne Isirayiri amateeka go.
Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,
n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.
11 Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola,
era okkirize emirimu gy’emikono gye.
Okubirenga ddala abo abamugolokokerako
okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”
12 Bye yayogera ku Benyamini:
“Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,
Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,
omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”
13 Yayogera bw’ati ku Yusufu:
“Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa,
n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu
n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,
14 n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,
n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;
15 n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,
n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;
16 n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,
n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.
Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,
mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.
17 Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye
amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;
anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,
n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.
Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu
nga ze nkumi za Manase.”
18 Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:
“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;
ne Isakaali ng’ali mu weema zo.
19 Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi
ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,
banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,
nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”
20 Yayogera bw’ati ku Gaadi:
“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,
Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma
ng’ayuza omukono n’omutwe.
21 Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,
omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.
Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana
ye yabasalira emisango gya Mukama,
n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”
22 Yayogera bw’ati ku Ddaani:
“Ddaani mwana gwa mpologoma,
ogubuuka nga guva mu Basani.”
23 Yayogera bw’ati ku Nafutaali:
“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda
era ng’ojjudde emikisa gye,
onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”
24 Yayogera bw’ati ku Aseri:
“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,
ku baganda be gwe babanga basinga okwagala
era emizabbibu* gigimuke nnyo mu ttaka lye.
25 Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo
n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.
 
26 “Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni
eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba
ne ku bire mu kitiibwa kye.
27 Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,
era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.
Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,
n’agamba nti, ‘Bazikirize!’
28 Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,
ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,
mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,
eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.
29 Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!
Ani akufaanana,
ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?
Ye ngabo yo era omubeezi wo,
era kye kitala kyo ekisinga byonna.
Abalabe bo banaakuvuunamiranga,
era onoobalinnyiriranga.”
* 33:24 Waabangawo amafuta agaggibwanga mu mizabbibu, era amafuta ago kaali kabonero akalaga obugagga.