12
Ennaku ze Tumala ku Nsi
1 Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,
ng’ennaku embi tezinnakutuukako
n’emyaka nga teginnasembera,
mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
2 ng’enjuba n’obutangaavu,
omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;
nga n’ebire biweddemu enkuba;
3 abakuumi b’enju mwe balikankanira,
n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,
nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,
n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
4 nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,
n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;
ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,
naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
5 nga batya buli kiwanvu
n’akabi akali mu nguudo,
ng’omubira gumulisizza,
ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.
Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu
n’abakungubazi ne babuna enguudo.
6 Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka
oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,
ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi
obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
7 ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,
n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
8 Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,
“Buli kintu butaliimu.”
Ebikomererayo
9 Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi.
10 Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.
11 Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo.
12 Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako.
Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.
13 Kale byonna biwuliddwa;
eno y’enkomerero yaabyo:
Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,
kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
14 Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;
ekyo ekyakwekebwa,
nga kirungi oba nga kibi.