6
Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa
1 Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu.
2 Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
3 Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala.
4 Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya.
5 Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:
6 omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
7 Buli muntu ateganira mumwa gwe,
naye tasobola kukkuta by’alina.
8 Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
agasibwa ki?
9 Amaaso kye galaba
kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
na kugoberera mpewo.
10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
n’amusobola.
11 Ebigambo gye bikoma obungi,
gye bikoma n’obutabaamu makulu;
kale ekyo kigasa kitya omuntu?
12 Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?